Make your own free website on Tripod.com

ABAAGAZI BA FEDERO MU UGANDA

 

FFE BAANI?

           

Tuli abaagala enkola ya Federo. Tetwesigamye ku nkola ya bya bufuzi yonna ku ezo eziri mu ggwanga. Enkola ya Federo erina ekigendererwa ky’okutumbula ebirowoozo by’abantu mu kwesalirawo enkola enaabafuga. Okunonyereza kwaffe kulubirira okutumbula enteseganya naddala ku nsonga enkulu ezinaasobozesa  banaansi okukulakulanya eby’enfuna, embeera z’abantu awamu n’enfuga ya demukulase ow’ekimmemete.

 

Mu nkola ya Federo tukozesa demokulase ow’ekimmemete. Tukkaanya nti demokulase aleeta enkulakulana okusinzira ku byetaago oba enfuna  y’abantu. Enkola ya Federo ejja kukendeza ku kwonoona eby’obugagga by’ensi eby’ebbula, kuba ejja kusoboseza amaloboozi g’abantu okuwulirwa era ne ddembe lyabwe ery’obwebange okussibwamu ekitiibwa.

 

Mu ngeri eno, Federo erowoozebwako ng’omuwatwa ogunaagolola enfuga etali yabwenkanya ezze ebaawo mu Uganda.

           

Tuteesa nti buli kitundu kyaliweereddwa obuyinza okwefuga, kisobozese okwewala obuzibu obuli mu nfuga, ey’ekipooli. Federo y’enkola ennyangu eyinza okukyusa engeri gye twefugamu. Ekikulu mu byonna tuleme kwefuula nti tuli bumu, tukkaanye era tuteme empenda ezinatutuusa ku kutabagana. Kino kituwa obumalirivu okunoonyereza ku birowoozo eby’enjawulo.

 

BIKI BYE TUKOLA?

 

Okwekebejja n’okunonyereza

 

Okwekebejja eby’ekiise mu nfuga ey’ekipooli. Uganda esaanye ekulembeze ebirowoozo by’abantu bonna, kino kigisobozese okutwala mu maaso enkyukakyuka mu bye nfuna n’okutumbula embeera z’abantu.

 

Mu bye tukola tutunuulira nnyo ebizibu eby’ekiise mu nkola ya gavumenti nga twekebejja engeri gye tuyinza okwekumakuma okusobola okukkaanya naddala nga twekebejja embeera y’eby’obulamu n’eby’enfuna ebizingamye eri bannansi abasinga. Obumulumulu obuli mu nkola ya gavumenti bwe tutunuulira era nga twebuuza, nti:

 

“Nkola ki ennungamu gye tusaanye okweyambisa okutumbula embeera z’abantu n’eby’enfuna ebizingamye?”

 

Tutaddewo enkola emanyisa abantu biki ebigenda mu maaso nga muno mwemuli “writing project for the print media” eriwo kati.

Ebizibu gye bigenze nga byeyongera, kireetedde abantu okuwanyisiganya ebirowoozo eby’omugaso eri eggwanga lyaffe. Tuluubirira okunoonyereza n’okuwanyisiganya ebirowoozo okusobola okweteekerateekera embeera ennungi.

 

 

 

OKUSOMOZEBWA.

 

Bannayuganda abakkiririza mu Federo, emirundi mingi basomozeddwa okunyonyola enkola n’omugaso gwa Federo. Emu ku nsonga enyingi eri:

 

       “Enkola ey’ekipooli tekyasobola”.

 

Twetaaga Federo kubanga ewa bannansi omukisa okusobola okukyusa mu by’enfuna, obufuzi, ebitongole ebikwasiza amateeka era n’okutabaganya abantu mu gwanga lyonna. Federo eggya kunyweeza n’okuzza obuggya obusobozi bwa Uganda okulabirira abantu baayo bonna.

           

Bye tuyiseemu biraze nti gavumenti eze njawulo ziremeddwa okussaawo enkola eyinza okumalawo ebizibu by’eggwanga lino erijudde abantu abaamawanga eg’enjawulo.

           

Tuteesa nti buli kitundu kyaliweereddwa obuyinza okwefuga okusobola okwewala obuzibu obuli mu nfuga y’ekipooli. Federo y’engeri enyangu ey’okukyusa engeri gye twefugamu. Ekikulu mu byonna tuleme kwefuula nti tuli bumu, tukkaanye era tuteme empenda ezinatutuusa kukutabagana. Kino kituwa obumalirivu okunonyereza kubirowoozo eby’enjawulo.

 

Enkyukakyuka mu bitongole nga eky’abalamuzi, poliisi n’amakomera ejja kusobozesa eggwanga okutambulira ku nfuga y’amateeka –amateeka agassa ekitiibwa mu muntu wa bulijjo era n’obwenkanya eri abantu bonna. Tuli bamativu nti abantu bajja kwanguyirwa okutuukirira n’okufuna omugaso mu bitongole ebyo.

 

OKUNNYONNYOLA  FEDERO.

 

Federo nkola yabukulembeze mu ggwanga mwe tusanga ng’obuyinza bugabanyizibwa ku mitendera ebiri. Muno tusangamu gavumenti eya wakati ng’egabana obuyinza ne gavumenti ez’ebitundu.

 

Mu nkola ya  Federo gavumenti z’ebitundu zirekera gavumenti ya wakati obumu ku buyinza ku lw’obulungi bw’eggwanga lyonna awamu.

 

Federo egenderera okuzza obuyinza n’eddembe ery’okwesalirawo eri abantu. Okusinga byonna, egatta ebitundu eby’enjawulo ne biba nga bikolaganira wamu naye ng’ebyetaago bya buli kitundu tebisuuliddwa muguluka era bisigaza obuyinza okwesalirawo ku bye   byetaaga.

 

Federo eyongera amaanyi mu gavumenti eya wakati. Enkola eno ekwata ku kugabana buyinza wakati wa gavumenti eya wakati ne gavumenti z’ebitundu mu ggwanga eriri ku mutindo.

 

Twegatteko ku mukutu gwa Internet  Feds.Net@yahoogroups.com. Okuteesa kulina kwetoololera ku mbeera za bya bufuzi mu Uganda.